Zabbuli 96

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.

2Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya.

3Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

4Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.

5Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu.

6Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola; amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

7Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna; mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.

8Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.

9Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.

10Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.

12Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze; n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.

13Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0