Zabbuli 137

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni, ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.

2Ne tuwanika ennanga zaffe ku miti egyali awo.

3Abaatunyaga ne batulagira okuyimba, abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka; nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

4Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama mu nsi eteri yaffe?

5Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, omukono gwange ogwa ddyo gukale!

6Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange singa nkwerabira, ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako okusinga ebintu ebirala byonna.

7Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola, ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa; ne baleekaana nti, “Kisuule, kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”

8Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa, yeesiimye oyo alikusasula ebyo nga naawe bye watukola.

9Yeesiimye oyo aliddira abaana bo n’ababetentera ku lwazi.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0