Zabbuli 29

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi. Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.

2Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

3Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi; Katonda ow’ekitiibwa abwatuka, n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.

4Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.

5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.

6Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana, ne Siriyooni ng’ennyana y’embogo.

7Eddoboozi lya Mukama libwatukira mu kumyansa.

8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.

9Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka. Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.

11Mukama awa abantu be amaanyi; Mukama awa abantu be emirembe.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0