Zabbuli 83

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego. Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.

2Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo; abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.

3Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo; basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.

4Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize, n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

5Basala olukwe n’omwoyo gumu; beegasse wamu bakulwanyise.

6Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri, n’eza Mowaabu, n’Abakagale;

7Gebali ne Amoni, ne Amaleki, n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.

8Era ne Asiriya yeegasse nabo, okuyamba bazzukulu ba Lutti.

9Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani, era nga bwe wakola Sisera ne Yabini ku mugga Kisoni,

10abaazikiririra mu Endoli ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.

11Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu, n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,

12abaagamba nti, “Ka tutwale amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu, obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.

14Ng’omuliro bwe gwokya ekibira; n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,

15naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo, obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.

16Baswaze nnyo, balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17Bajjule ensonyi n’okutya, bazikirire nga baswadde nnyo.

18Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa Yakuwa, gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0