Zabbuli 145
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange; era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2Nnaakutenderezanga buli lunaku; era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo, era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo, era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo, nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza; era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8Mukama wa kisa, ajudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9Mukama mulungi eri buli muntu, era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama; n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo, era banaatendanga amaanyi go.
12Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi, n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa, n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa, era ayimusa bonna abagwa.
15Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama, era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna era ayagala byonna bye yatonda.
18Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala, era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20Mukama akuuma bonna abamwagala, naye abakola ebibi alibazikiriza.
21Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama, era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.
Zabbuli
- 1
- 2
- 3
- 4
- 5
- 6
- 7
- 8
- 9
- 10
- 11
- 12
- 13
- 14
- 15
- 16
- 17
- 18
- 19
- 20
- 21
- 22
- 23
- 24
- 25
- 26
- 27
- 28
- 29
- 30
- 31
- 32
- 33
- 34
- 35
- 36
- 37
- 38
- 39
- 40
- 41
- 42
- 43
- 44
- 45
- 46
- 47
- 48
- 49
- 50
- 51
- 52
- 53
- 54
- 55
- 56
- 57
- 58
- 59
- 60
- 61
- 62
- 63
- 64
- 65
- 66
- 67
- 68
- 69
- 70
- 71
- 72
- 73
- 74
- 75
- 76
- 77
- 78
- 79
- 80
- 81
- 82
- 83
- 84
- 85
- 86
- 87
- 88
- 89
- 90
- 91
- 92
- 93
- 94
- 95
- 96
- 97
- 98
- 99
- 100
- 101
- 102
- 103
- 104
- 105
- 106
- 107
- 108
- 109
- 110
- 111
- 112
- 113
- 114
- 115
- 116
- 117
- 118
- 119
- 120
- 121
- 122
- 123
- 124
- 125
- 126
- 127
- 128
- 129
- 130
- 131
- 132
- 133
- 134
- 135
- 136
- 137
- 138
- 139
- 140
- 141
- 142
- 143
- 144
- 145
- 146
- 147
- 148
- 149
- 150
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0