Zabbuli 128

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Balina omukisa abatya Katonda; era abatambulira mu makubo ge.

2Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.

3Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.

4Bw’atyo bw’aweebwa emikisa omuntu atya Mukama.

5Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni, era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi ennaku zonna ez’obulamu bwo.

6Owangaale olabe abaana b’abaana bo! Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0