Zabbuli 122

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”

Ebigere byaffe biyimiridde mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

Yerusaalemi yazimbibwa okuba ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.

Eyo ebika byonna gye biraga, ebika bya Mukama, okutendereza erinnya lya Mukama ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.

Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa; z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

Musabirenga Yerusaalemi emirembe: “Abo abakwagala bafune ebirungi.

Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo; n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”

Olwa baganda bange ne mikwano gyange nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”

Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0