Zabbuli 72

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya, ne mutabani we omuwe obutuukirivu,

2alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu, n’abaavu abalamulenga mu mazima.

3Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.

4Anaalwaniriranga abaavu, n’atereeza abaana b’abo abeetaaga, n’omujoozi n’amusaanyaawo.

5Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma okwaka mu mirembe gyonna.

6Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa, afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.

7Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe, n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

8Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nkomerero z’ensi!

9Ebika eby’omu malungu bimugonderenga, n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.

10Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku bizinga eby’ewala bamuwenga omusolo; bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba bamutonerenga ebirabo.

11Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge; amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga, n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.

13Anaasaasiranga omunafu n’omwavu; n’awonya obulamu bwa kateeyamba.

14Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe; kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15Awangaale! Aleeterwe zaabu okuva e Syeba. Abantu bamwegayiririrenga era bamusabirenga emikisa buli lunaku.

16Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi, ebikke n’entikko z’ensozi. Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni; n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.

17Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri, oyo yekka akola ebyewuunyisa.

19Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina!

20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0