Zabbuli 54

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.

Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita.

Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange.

Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo.

Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi.

Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0