Zabbuli 79

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga; boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa, ne kifuuka entuumo.

2Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga, n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.

3Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi okwetooloola Yerusaalemi, so nga abafudde tewali muntu abaziika.

4Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso, era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.

5Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?

6Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga agatakumanyi, ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.

7Kubanga bazikirizza Yakobo, ne basaanyaawo ensi ye.

8Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.

9Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe olw’erinnya lyo.

10Lwaki abamawanga babuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?” Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa, kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.

11Wuliriza okusinda kw’omusibe; okozese omukono gwo ogw’amaanyi owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.

12Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira, bawalane emirundi musanvu.

13Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna; buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0