Zabbuli 146

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Tendereza Mukama! Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

2Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange; nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.

3Teweesiganga bafuzi, wadde abantu obuntu omutali buyambi.

4Kubanga bafa ne bakka emagombe; ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.

5Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo; ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,

6eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna.

7Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya, n’abalumwa enjala abawa ebyokulya. Mukama asumulula abasibe.

8Mukama azibula amaaso ga bamuzibe, era awanirira abazitoowereddwa. Mukama ayagala abatuukirivu.

9Mukama alabirira bannamawanga, era ayamba bamulekwa ne bannamwandu; naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe. Mutendereze Mukama!

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0