Zabbuli 129

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Isirayiri ayogere nti, “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”

Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange; naye tebampangudde.

Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,

kyokka Mukama mutuukirivu; amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe era bazzibweyo emabega nga baswadde.

Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba, oguwotoka nga tegunnakula.

Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.

Wadde abayitawo baleme kwogera nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe. Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0