Zabbuli 42
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi, n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
2Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu. Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
3Nkaabirira Mukama emisana n’ekiro. Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro, abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
4Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene, ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu, nga tugenda mu nnyumba ya Katonda, nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
5Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda, kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange; ye mubeezi wange.
6Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise, yeeraliikiridde; naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali.
7Obuziba bukoowoola obuziba, olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro amayengo n’amasingisira go bimpiseeko.
8Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro ne muyimbira oluyimba lwe; y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
9Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti, “Lwaki onneerabidde? Lwaki ŋŋenda nkungubaga olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange bancocca, nga bwe bagamba buli kiseera nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
11Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Weesigenga Katonda, kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era ye Katonda wange.
Zabbuli
- 1
- 2
- 3
- 4
- 5
- 6
- 7
- 8
- 9
- 10
- 11
- 12
- 13
- 14
- 15
- 16
- 17
- 18
- 19
- 20
- 21
- 22
- 23
- 24
- 25
- 26
- 27
- 28
- 29
- 30
- 31
- 32
- 33
- 34
- 35
- 36
- 37
- 38
- 39
- 40
- 41
- 42
- 43
- 44
- 45
- 46
- 47
- 48
- 49
- 50
- 51
- 52
- 53
- 54
- 55
- 56
- 57
- 58
- 59
- 60
- 61
- 62
- 63
- 64
- 65
- 66
- 67
- 68
- 69
- 70
- 71
- 72
- 73
- 74
- 75
- 76
- 77
- 78
- 79
- 80
- 81
- 82
- 83
- 84
- 85
- 86
- 87
- 88
- 89
- 90
- 91
- 92
- 93
- 94
- 95
- 96
- 97
- 98
- 99
- 100
- 101
- 102
- 103
- 104
- 105
- 106
- 107
- 108
- 109
- 110
- 111
- 112
- 113
- 114
- 115
- 116
- 117
- 118
- 119
- 120
- 121
- 122
- 123
- 124
- 125
- 126
- 127
- 128
- 129
- 130
- 131
- 132
- 133
- 134
- 135
- 136
- 137
- 138
- 139
- 140
- 141
- 142
- 143
- 144
- 145
- 146
- 147
- 148
- 149
- 150
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0