Zabbuli 59

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange; onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.

2Omponye abakola ebitali bya butuukirivu, era ondokole mu batemu.

3Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita. Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama, so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.

4Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba. Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.

5Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, golokoka obonereze amawanga gonna; abo bonna abasala enkwe tobasaasira.

6Bakomawo buli kiro, nga babolooga ng’embwa, ne batambulatambula mu kibuga.

7Laba, bwe bavuma! Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala, nga boogera nti, “Ani atuwulira?”

8Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera, era amawanga ago gonna oganyooma.

9Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu.

10Katonda wange anjagala anankulemberanga, ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.

11Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe, abantu bange baleme kwerabira; mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange; n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.

12Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe, n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe leka byonna bibatege ng’omutego. Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.

13Bamaleewo n’ekiruyi kyo, bamalirewo ddala; amawanga gonna galyoke gategeere nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.

14Bakomawo nga buwungedde nga babolooga ng’embwa, ne batambulatambula mu kibuga.

15Banoonya emmere buli wantu mu kibuga, ne bawowoggana bwe batakkuta.

16Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go; mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.

17Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0