Zabbuli 131

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Ayi Mukama siri wa malala, so n’amaaso gange tegeegulumiza. Siruubirira bintu binsukiridde newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.

Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere. Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.

Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0