Zabbuli 87

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.

2Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

3Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako, ggwe ekibuga kya Katonda.

4“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”

5Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.

6Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati, omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

7Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0