Zabbuli 93

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa. Mukama ayambadde ekitiibwa era yeesibye amaanyi. Ensi yanywezebwa; teyinza kunyeenyezebwa.

2Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda. Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

3Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama; ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo, n’amazzi g’ennyanja gayira.

4Mukama, Ali Waggulu Ennyo, oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi; oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

5Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu, n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo, ennaku zonna.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0