Zabbuli 43

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Ayi Katonda, onnejjeereze omponye eggwanga eritatya Katonda ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.

Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi. Lwaki ondese? Lwaki ŋŋenda nkaaba nga nnyigirizibwa omulabe?

Kale tuma omusana gwo n’amazima binnuŋŋamye; bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, mu kifo mw’obeera.

Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda, eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika. Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga, Ayi Katonda, Katonda wange.

Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse munda yange? Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era Katonda wange.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0