Zabbuli 126

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni, twafaanana ng’abaloota.

Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko, ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu. Amawanga ne gagamba nti, “ Mukama abakoledde ebikulu.”

Mukama atukoledde ebikulu, kyetuvudde tusanyuka.

Otuzze obuggya, Ayi Mukama, tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.

Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.

Oyo agenda ng’akaaba ng’atwala ensigo okusiga; alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu ng’aleeta ebinywa bye.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0