Zabbuli 75

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Tukwebaza, Ayi Katonda. Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi. Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.

2Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera era nsala omusango gwa bwenkanya.

3Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira, naye nze nywezezza empagi zaayo.”

4Nalabula ab’amalala bagaleke, n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.

5Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu n’okwogera nga muduula.

6Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,

7wabula biva eri Katonda; era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.

8Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu; akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.

9Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama; nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.

10Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi, naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0