Zabbuli 101

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.

2Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu, naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yange nga siriiko kya kunenyezebwa.

3Sijjanga kwereetereza kintu kyonna ekibi. Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo; sijjanga kubyeteekako.

4Sijjanga kuba mukuusa; ekibi nnaakyewaliranga ddala.

5Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala sijja kubigumiikirizanga.

6Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga, balyoke babeerenga nange; akola eby’obutuukirivu y’anamperezanga.

7Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.

8Buli nkya nnaazikirizanga abakola ebibi bonna mu nsi, bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala mu kibuga kya Mukama.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0