Zabbuli 12

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda; abantu abeesigwa bonna baweddewo.

Buli muntu alimba munne; akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana, na buli lulimi olwenyumiriza;

nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe, kubanga ani alitukuba ku mukono.”

Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.”

Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga, n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.

Ababi beeyisaayisa nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0