Zabbuli 84
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama ow’Eggye!
2Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olw’empya za Mukama, omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi n’Ebyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.
5Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go, era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6Bayita mu kiwonvu Baka, ne bakifuula ekifo ky’ensulo; n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
7Bagenda beeyongera amaanyi, okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye; mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9Ayi Katonda, Engabo yaffe, tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12Ayi Mukama ow’Eggye alina omukisa omuntu akwesiga.
Zabbuli
- 1
- 2
- 3
- 4
- 5
- 6
- 7
- 8
- 9
- 10
- 11
- 12
- 13
- 14
- 15
- 16
- 17
- 18
- 19
- 20
- 21
- 22
- 23
- 24
- 25
- 26
- 27
- 28
- 29
- 30
- 31
- 32
- 33
- 34
- 35
- 36
- 37
- 38
- 39
- 40
- 41
- 42
- 43
- 44
- 45
- 46
- 47
- 48
- 49
- 50
- 51
- 52
- 53
- 54
- 55
- 56
- 57
- 58
- 59
- 60
- 61
- 62
- 63
- 64
- 65
- 66
- 67
- 68
- 69
- 70
- 71
- 72
- 73
- 74
- 75
- 76
- 77
- 78
- 79
- 80
- 81
- 82
- 83
- 84
- 85
- 86
- 87
- 88
- 89
- 90
- 91
- 92
- 93
- 94
- 95
- 96
- 97
- 98
- 99
- 100
- 101
- 102
- 103
- 104
- 105
- 106
- 107
- 108
- 109
- 110
- 111
- 112
- 113
- 114
- 115
- 116
- 117
- 118
- 119
- 120
- 121
- 122
- 123
- 124
- 125
- 126
- 127
- 128
- 129
- 130
- 131
- 132
- 133
- 134
- 135
- 136
- 137
- 138
- 139
- 140
- 141
- 142
- 143
- 144
- 145
- 146
- 147
- 148
- 149
- 150
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0