Zabbuli 6

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo.

2Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.

3Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

4Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.

5Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

6Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange n’omutto ne gutoba.

7Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

8Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.

9Mukama awulidde okwegayirira kwange, n’okusaba kwange akukkirizza.

10Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0