Zabbuli 116

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Mukama mmwagala, kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.

2Kubanga ateze okutu kwe gye ndi, kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

3Emiguwa gy’okufa gyansiba, n’okulumwa okw’emagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.

4Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti, “Ayi Mukama, ndokola.”

5Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe ajjudde okusaasira.

6Mukama alabirira abantu abaabulijjo; bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

7Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.

8Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa, n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba; n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,

9ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama mu nsi ey’abalamu.

10Nakkiriza kyennava njogera nti, “Numizibbwa nnyo.”

11Ne njogera nga nterebuse nti, “Abantu bonna baliraba.”

12Mukama ndimusasula ntya olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?

13Nditoola ekikompe eky’obulokozi, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.

14Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna.

15Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.

16Ayi Mukama, onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.

18Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna,

19mu mpya z’ennyumba ya Mukama; wakati wo, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0