Zabbuli 62

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka; oyo obulokozi bwange mwe buva.

2Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange; ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.

3Mulituusa ddi nga mulumba omuntu, mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?

4Bateesa okumuggya mu kifo kye ekinywevu, basanyukira eby’obulimba. Basaba omukisa n’emimwa gyabwe so nga munda bakolima.

5Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.

6Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange, ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.

7Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka; ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.

8Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu, mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe, kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

9Abaana b’abantu mukka bukka, abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere; ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani, n’omukka gubasinga okuzitowa.

10Temwesigamanga ku bujoozi wadde ku bintu ebibbe. Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga, era temubumalirangako mwoyo gwammwe.

11Katonda ayogedde ekintu kimu, kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti: Katonda, oli w’amaanyi,

12era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala. Ddala olisasula buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0