Zabbuli 100

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.

2Muweereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.

3Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

4Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze n’okutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye.

5Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0