Zabbuli 76
Luganda Contemporary Bible (Biblica)
1Katonda amanyiddwa mu Yuda; erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2Eweema ye eri mu Yerusaalemi; era abeera mu Sayuuni.
3Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza; n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.
4Owa ekitangaala, oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa, beebaka ne batasobola kugolokoka, ne watabaawo n’omu asobola okuyimusa omukono gwe.
6Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
7Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga. Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
8Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu, ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
9bw’ogolokoka okusala omusango, okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa, n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga; bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo, kubanga asaanidde okutiibwa.
12Mukama akkakkanya abalangira, ne bakabaka b’ensi bamutya.
Zabbuli
- 1
- 2
- 3
- 4
- 5
- 6
- 7
- 8
- 9
- 10
- 11
- 12
- 13
- 14
- 15
- 16
- 17
- 18
- 19
- 20
- 21
- 22
- 23
- 24
- 25
- 26
- 27
- 28
- 29
- 30
- 31
- 32
- 33
- 34
- 35
- 36
- 37
- 38
- 39
- 40
- 41
- 42
- 43
- 44
- 45
- 46
- 47
- 48
- 49
- 50
- 51
- 52
- 53
- 54
- 55
- 56
- 57
- 58
- 59
- 60
- 61
- 62
- 63
- 64
- 65
- 66
- 67
- 68
- 69
- 70
- 71
- 72
- 73
- 74
- 75
- 76
- 77
- 78
- 79
- 80
- 81
- 82
- 83
- 84
- 85
- 86
- 87
- 88
- 89
- 90
- 91
- 92
- 93
- 94
- 95
- 96
- 97
- 98
- 99
- 100
- 101
- 102
- 103
- 104
- 105
- 106
- 107
- 108
- 109
- 110
- 111
- 112
- 113
- 114
- 115
- 116
- 117
- 118
- 119
- 120
- 121
- 122
- 123
- 124
- 125
- 126
- 127
- 128
- 129
- 130
- 131
- 132
- 133
- 134
- 135
- 136
- 137
- 138
- 139
- 140
- 141
- 142
- 143
- 144
- 145
- 146
- 147
- 148
- 149
- 150
Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.
© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0