Zabbuli 41

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.

Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.

Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; n’amuwonya mu bulumi.

Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”

Abalabe bange boogeza obukyayi nti, “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”

Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange; naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa. Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.

Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama; nga banjogerako ebitali birungi.

Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo, emukubye wansi tayinza kuwona.”

Era ne mukwano gwange gwe neesiganga bwe twalyanga, anneefuukidde.

Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire, onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.

Mmanyi ng’onsanyukira, kubanga omulabe wange tampangudde.

Onnywezezza mu bwesimbu bwange, ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.

Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna. Amiina era Amiina.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0