Zabbuli 32

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo.

2Alina omukisa omuntu oyo Mukama gw’atakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

3Bwe nasirikiranga ekibi kyange, ne nkogga, kubanga nasindanga olunaku lwonna.

4Wambonerezanga emisana n’ekiro, amaanyi ne ganzigwamu ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

5Awo ne nkwatulira ekibi kyange, ne sibikkirira kwonoona kwange. Ne njogera nti, “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.” Bw’otyo n’onsonyiwa, n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

6Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa bakwegayirire ng’okyalabika; oluvannyuma ebizibu bwe birijja, ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.

7Oli kifo kyange mwe nneekweka, ononkuumanga ne situukwako kabi era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

8Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.

9Temubeeranga ng’embalaasi oba ennyumbu ezitategeera, ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba, ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.

10Ababi balaba ennaku nnyingi; naye abeesiga Mukama bakuumirwa mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu, era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0