Zabbuli 61

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

1Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda; wulira okusaba kwange.

2Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi, omutima gwange nga gugenda gunafuwa. Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.

3Kubanga gw’oli kiddukiro kyange. Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

4Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna; ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.

5Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange: ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

6Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka; emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,

7alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna. Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

8Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna, nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Zabbuli

Open the interactive reader to switch translations, adjust type, and mark verses — or browse verses by topic.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0