Zabbuli 82

Luganda Contemporary Bible (Biblica)

Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu, ng’alamula bakatonda.

Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa, nga musalira abanafu?

Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya; abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.

Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye; mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

Tebalina kye bamanyi, era tebategeera. Batambulira mu kizikiza; emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

Njogedde nti, Muli bakatonda, era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.

“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu; muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi; kubanga amawanga gonna gago.

Zabbuli

Ggulawo omusomi ogw’enkolagana okukyusa enkyusa, okulongoosa ennukuta, n’okuteeka obubonero ku nnyiriri — oba noonya ennyiriri okusinziira ku mutwe.

© 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. · CC BY-SA 4.0