Ennyiriri za Bayibuli ku Okusaba n'Ekigambo

Katonda awadde abantu be eby'enkambi bibiri eby'ekikulu eby'okutabagana naye: ayogera naffe mu Kigambo kye, naffe twogera naye mu kusaba n'okutendereza. Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era ekitangaala eri ekkubo lyange. Ennyiriri zino zikoleeza obulamu obw'okusaba, okusinza, n'amagezi agaggibwa mu Byawandiikibwa.

Okusaba

Okusaba — Abafiripi 4:6

Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.

Okwegayiririra Abalala — 1 Timoseewo 2:1

Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna.

Okunyiikira mu Kusaba — Lukka 18:1

Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti,

Okusaba n'Ekyawandiikibwa — Yokaana 15:7

Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

Okukaabira Katonda — Zabbuli 34:17

Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.

Okukungubaga — Zabbuli 13:1

Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna? Olikomya ddi okunkweka amaaso go?

Obuvumu mu Kusaba — Abaebbulaniya 4:16

Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.

Saba, Noonya, Konkona — Matayo 7:7

“Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.

Musabe Awatali Kukoowa — 1 Basessaloniika 5:17

Musabenga obutayosa.

Okusaba okw'Okukkiriza — Yakobo 5:15

Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.

Okusaba mu Mwoyo — Yuda 1:20

Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu,

Okusaba Okukola — Yakobo 5:16

Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

Bw'Osaba — Matayo 6:6

Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye.

Okukkiriziganya mu Kusaba — Matayo 18:19

“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera.

Okusinza n'Okutendereza

Okusinza — Yokaana 4:24

Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”

Okutendereza — Zabbuli 150:6

Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.

Okwebaza — Zabbuli 100:4

Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze n’okutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye.

Okugulumiza Katonda — Zabbuli 95:6

Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.

Okuyimbira Katonda — Zabbuli 96:1

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.

Okussaamu Ekitiibwa — Abaebbulaniya 12:28

Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya.

Omutima ogw'Okwebaza — Abakkolosaayi 3:16

Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.

Okusinza mu Mwoyo ne mu Mazima — Yokaana 4:23

Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima.

Tendereza Mukama — Zabbuli 103:1

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.

Muleekaanire Mukama n'Essanyu — Zabbuli 100:1

Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.

Muyimuse Emikono Gyammwe — Zabbuli 134:2

Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu, mutendereze Mukama.

Ssaddaaka ey'Okutendereza — Abaebbulaniya 13:15

Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye.

Mumutendereze mu Bifo Ebya Waggulu — Zabbuli 148:1

Mutendereze Mukama! Mumutendereze nga musinziira mu ggulu, mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.

Ekigambo kya Katonda

Ekyawandiikibwa — 2 Timoseewo 3:16

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu,

Okutereka Ekigambo mu Mutima — Zabbuli 119:11

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

Amaanyi g'Ekigambo — Abaebbulaniya 4:12

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.

Okufumiitiriza ku Kigambo — Yoswa 1:8

Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.

Okwesigama ku Kigambo — Matayo 24:35

Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Ettaala eri Ebigere Byange — Zabbuli 119:105

Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.

Ekigambo Kibeerera Emirembe Gyonna — Isaaya 40:8

Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”

Kiwoomerera Okusinga Omubisi gw'Enjuki — Zabbuli 119:103

Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.

Omuntu Tabeerera ku Mugaati Gwokka — Matayo 4:4

Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

Mwegombe Amata Amalongoofu — 1 Peetero 2:2

Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,

Ensigo y'Ekigambo — Lukka 8:11

“Kale, amakulu g’olugero olwo ge gano: Ensigo ky’ekigambo kya Katonda.

Munyiikire mu Kigambo — Yokaana 8:31

Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala.

Amagezi n'Okwawula

Amagezi — Yakobo 1:5

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Okwawula — Abaebbulaniya 5:14

Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.

Okutegeera — Engero 3:13

Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera,

Okuwabula — Engero 11:14

Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana, naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.

Okusalawo — Engero 16:9

Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye, naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.

Okuluŋŋamya — Zabbuli 32:8

Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.

Okwagala kwa Katonda — Abaruumi 12:2

So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.

Okumanya — Engero 1:7

Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.

Amagezi Agava Waggulu — Yakobo 3:17

Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.

Funa Amagezi — Engero 4:7

Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.

Yesiga, Toyesigama ku Magezi go — Engero 3:5

Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.

Okukebera Buli Kintu — 1 Basessaloniika 5:21

naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga.

Tambula mu Magezi — Abakkolosaayi 4:5

Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina.