Ennyiriri za Bayibuli ku Okutendereza
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okutendereza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.
Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera, akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, n’obukulu bwe tebwogerekeka.
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna; nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye.
Mutendereze Mukama! Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe; kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Akamwa kange kajjudde ettendo lyo, nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.