Ennyiriri za Bayibuli ku Okusinza mu Mwoyo ne mu Mazima
Ennyiriri za Bayibuli 12 ku Okusinza mu Mwoyo ne mu Mazima okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima.
Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”
Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.
Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.
Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima.
tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu.
Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.
Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”
“ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’ Naye emitima gyabwe gindi wala. ‘Okusinza kwabwe kwa bwereere. Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”
Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi.
“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu, era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna.
Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu? Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere.