Ennyiriri za Bayibuli ku Tendereza Mukama
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Tendereza Mukama okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna.
Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera, akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange; era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe. Nnaakutenderezanga buli lunaku; era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna ebiri mu matwale ge gonna. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
Naye ffe tunaatenderezanga Mukama, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama!
Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.