Ennyiriri za Bayibuli ku Okusinza
Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Okusinza okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.
“Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”
Muweereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya.
Tosinzanga katonda mulala yenna, kubanga Nze Mukama, ayitibwa Waabuggya, ndi Katonda wa buggya.
Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye. Mukama mutukuvu.