Ennyiriri za Bayibuli ku Okugulumiza Katonda

Ennyiriri za Bayibuli 13 ku Okugulumiza Katonda okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 95:6

Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.

02 Zabbuli 99:5

Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye. Mukama mutukuvu.

03 Okubikkulirwa 4:11

“Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”

04 Zabbuli 29:2

Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

05 Zabbuli 96:9

Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.

06 Zabbuli 8:1

Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.

07 Okubikkulirwa 5:12

Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omwana gw’Endiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”

08 Okubikkulirwa 5:13

Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa, n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga, Emirembe n’emirembe.”

09 Zabbuli 145:3

Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo, n’obukulu bwe tebwogerekeka.

10 Isaaya 6:3

Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

11 Zabbuli 63:3

Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga.

12 1 Ebyomumirembe 16:29

Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.

13 Zabbuli 113:3

Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

Emitwe egikwatagana