Ennyiriri za Bayibuli ku Okufumiitiriza ku Kigambo
Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Okufumiitiriza ku Kigambo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.
Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro. Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga, ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo, n’ebikoola byagwo tebiwotoka. Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo, ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
Amateeka go nga ngagala nnyo! Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako.
Seebaka ekiro kyonna nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
Nzijukira ennaku ez’edda, ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna, ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi; nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.