Ennyiriri za Bayibuli ku Okutereka Ekigambo mu Mutima
Ennyiriri za Bayibuli 6 ku Okutereka Ekigambo mu Mutima okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.
Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.
Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu? Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
Mutabani nyweeza ebigambo byange, era okuumenga ebiragiro byange. Kwata ebiragiro byange obeere mulamu, n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo; togalekanga kuva mu ngalo zo, gawandiike ku mutima gwo.
Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe.