Ennyiriri za Bayibuli ku Ettaala eri Ebigere Byange

Ennyiriri za Bayibuli 9 ku Ettaala eri Ebigere Byange okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 119:105

Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.

02 Zabbuli 119:130

Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana; n’atategeera bulungi bimugeziwaza.

03 Engero 6:23

Kubanga amateeka ttabaaza, era n’okuyigiriza kitangaala, okukulabula olw’okukuluŋŋamya, ly’ekkubo ery’obulamu,

04 2 Peetero 1:19

Kyetuvudde tweyongera okukakasa ebyo bannabbi bye baategeeza, era bwe munaabigonderanga munaabanga mukoze bulungi. Kubanga biri ng’ettaala eyaka mu kizikiza okutuusa obudde lwe bukya, emunyeenye ey’enkya n’eryoka eyaka mu mitima gyammwe.

05 Yokaana 8:12

Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”

06 Zabbuli 19:8

Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima gw’oyo akugondera. Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso, bye galaba.

07 Zabbuli 43:3

Kale tuma omusana gwo n’amazima binnuŋŋamye; bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, mu kifo mw’obeera.

08 Engero 4:18

Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.

09 Zabbuli 119:11

Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.

Emitwe egikwatagana