Ennyiriri za Bayibuli ku Amaanyi g'Ekigambo
Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Amaanyi g'Ekigambo okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.
bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwereere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.
Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga.
Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza.
Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”
Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.
Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.