Ennyiriri za Bayibuli ku Ekigambo Kibeerera Emirembe Gyonna

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Ekigambo Kibeerera Emirembe Gyonna okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Isaaya 40:8

Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”

02 1 Peetero 1:24-25

Kubanga, “Abantu bonna bali ng’omuddo, n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa. Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.

03 Matayo 24:35

Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

04 Zabbuli 119:89

Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu, kya mirembe gyonna.

05 Makko 13:31

Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”

06 Zabbuli 119:152

Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo, nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

07 Lukka 21:33

Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

08 Zabbuli 100:5

Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

09 Isaaya 59:21

“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.

10 Zabbuli 12:6-7

Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba. Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga, n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.

Emitwe egikwatagana