Ennyiriri za Bayibuli ku Omuntu Tabeerera ku Mugaati Gwokka

Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Omuntu Tabeerera ku Mugaati Gwokka okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Matayo 4:4

Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

02 Ekyamateeka Olwokubiri 8:3

Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.

03 Lukka 4:4

Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”

04 Yokaana 6:35

Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.

05 Yobu 23:12

Saava ku biragiro by’akamwa ke. Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.

06 Yokaana 6:51

Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”

07 Yokaana 6:63

Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.

08 Yeremiya 15:16

Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.

09 Yokaana 6:68

Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo.

10 Amosi 8:11

“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.

11 1 Peetero 2:2

Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe,

12 Yokaana 4:34

Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe.

13 Engero 9:5

“Mujje mulye ku mmere yange era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.

14 Zabbuli 119:103

Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.

Emitwe egikwatagana