Ennyiriri za Bayibuli ku Kiwoomerera Okusinga Omubisi gw'Enjuki

Ennyiriri za Bayibuli 15 ku Kiwoomerera Okusinga Omubisi gw'Enjuki okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Zabbuli 119:103

Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.

02 Zabbuli 19:10

Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki, okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.

03 Zabbuli 119:97

Amateeka go nga ngagala nnyo! Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.

04 Yeremiya 15:16

Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya, byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange. Kubanga mpitibwa linnya lyo, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.

05 Ezeekyeri 3:3

N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.

06 Zabbuli 119:72

Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

07 Zabbuli 119:127

Naye nze njagala amateeka go okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.

08 Zabbuli 119:111

Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna; weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.

09 Engero 24:13-14

Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi, omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera. Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo, bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso, n’essuubi lyo teririkoma.

10 Zabbuli 19:9-10

Okutya Mukama kirungi, era kya mirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya, era bya butuukirivu ddala. Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki, okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.

11 Zabbuli 119:162

Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana ng’oyo afunye obugagga obungi.

12 Yobu 23:12

Saava ku biragiro by’akamwa ke. Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.

13 Zabbuli 119:131

Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja nga njaayaanira amateeka go.

14 Zabbuli 119:14

Nsanyukira okugondera ebiragiro byo, ng’asanyukira eby’obugagga.

15 Engero 16:24

Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.

Emitwe egikwatagana