Ennyiriri za Bayibuli ku Okutegeera
Ennyiriri za Bayibuli 14 ku Okutegeera okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera,
Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
era n’ossaayo omwoyo eri amagezi, era n’ossa omutima gwo eri okutegeera, ddala ddala singa oyaayaanira okumanya era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera; kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.
Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana; n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
N’agamba omuntu nti, ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi, n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”
“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera, era yeeyoleka ne mu basirusiru.
Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe.
Omusirusiru tasanyukira kutegeera, ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo.
Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye, n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.