Ennyiriri za Bayibuli ku Okumanya

Ennyiriri za Bayibuli 8 ku Okumanya okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Engero 1:7

Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.

02 Koseya 4:6

Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya. “Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.

03 Engero 2:5

awo w’olitegeerera okutya Mukama, era n’ovumbula okumanya Katonda.

04 2 Peetero 3:18

Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.

05 Abafiripi 1:9

Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera,

06 Engero 9:10

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

07 Abakkolosaayi 2:3

Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya.

08 Engero 18:15

Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya, amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.

Emitwe egikwatagana