Ennyiriri za Bayibuli ku Amagezi Agava Waggulu
Ennyiriri za Bayibuli 11 ku Amagezi Agava Waggulu okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.
Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.
Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo.
Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,
N’ayogera nti, “Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe, kubanga amagezi n’obuyinza bibye. Ategeera ebiseera n’ebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era n’okumanyisa abo abategeevu.
ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera.
Mukama nze gwe yasooka okwoleka nga tannabaako kirala ky’akola. Nateekebwawo dda nnyo, ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe;
Katonda ategeera ekkubo erigatuukako era ye yekka y’amanyi gye gabeera, kubanga alaba enkomerero y’ensi era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu. Bwe yateekawo amaanyi g’empewo, n’apima n’amazzi, bwe yateekera enkuba etteeka era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa, olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira; n’agateekawo, n’agagezesa. N’agamba omuntu nti, ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi, n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”