Ennyiriri za Bayibuli ku Amagezi n'Okwawula
Okutya Mukama kwe ntandikwa y'amagezi, era abo abasaba bagaweebwa Katonda mu bugagga. Amagezi gategeera ekkubo eddungi ne gatambulira mwe. Ennyiriri zino zikuyamba okubeera n'amagezi mu bulamu n'okulonda ekisanyusa Katonda.
Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.
Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.
Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana, naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.
Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye, naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga; nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.
naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga.
Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina.