Ennyiriri za Bayibuli ku Tambula mu Magezi

Ennyiriri za Bayibuli 10 ku Tambula mu Magezi okusoma, okulowoozaako, n'okukwata ku mutwe.

01 Abakkolosaayi 4:5

Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina.

02 Abaefeso 5:15-16

Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.

03 Yakobo 1:5

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

04 Engero 4:7

Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.

05 Abakkolosaayi 1:9-10

Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda.

06 Engero 3:5-6

Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

07 Engero 9:10

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

08 Yakobo 3:17

Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.

09 Zabbuli 90:12

Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe, tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.

10 Engero 2:6

Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.

Emitwe egikwatagana